1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda kasooka alya obwakabaka, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okulwana ne Yerusaalemi, n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
2 Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuusa ku mwaka ogwa kabaka Zedeekiya ogw'ekkumi n'ogtunu.
3 Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogw'okuna enjala n'enyiikira mu kibuga, emmere n'okubula n'ebula abantu ab'omu nsi eyo.
4 Awo ne bawagula mu kibuga ekituli, abasajja bonna abalwanyi ne badduka kiro mu kkubo ery'omulyango oguli wakati wa babbugwe babiri ogwaliraana olusuku lwa kabaka: (era Abakaludaaya baali nga bazingizizza ekibuga enjuyi zonna:) kabaka n'ayita mu kkubo erya Alaba.
5 Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.
6 Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa ne bamuleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula; ne bamusalira omusango.
7 Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso Zeddekiya, ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babulooni.
8 Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi:
9 n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba ennene, n'azookya omuliro.
10 N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali n'omukulu w'abambowa ne bamenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.
11 N'abantu abafisseewo abasigadde mu kibuga n'abo abaasenguka abaasenga kabaka w'e Babulooni n'abaffisseewo ku kibiina, abo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aba twalira ddala nga basibe.
12 Naye omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abaasinga obwavu ab'omu nsi eyo okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.
13 N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyamenya, ne batwala ebikomo byamu e Babulooni.
14 N'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo bye baaweerezanga nabyo, ne babiggyayo.
15 N'ebyoterezo n'ebibya; ebyali ebya zaabu, zaabu yaako, n'ebyali ebya ffeeza, ffeeza yaako, omukulu w'abambowa n'abiggyayo.
16 Empagi zombi, ennyanja emu, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; ebikomo eby'ebintu bino byonna tebyagereka.
17 Empagi emu obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana, n'omutwe ogw'ekikomo gwali ku yo: n'omutwe obugulumivu bwagwo emikono esatu; omulimu omuluke n'amakomamawanga nga biri ku mutwe okwetooloola, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri yalina ebifaanana ebyo, n'omulimu omuluke.
18 Omukulu w'abambowa n'akwata Seraya kabona asinga obukulu ne Zeffaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu:
19 ne mu kibuga n'aggyamu omwami eyakulira abasajja abalwanyi; n'abasajja bataano ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'o mu nsi; n'abasajja nkaaga ku bantu ab'omu nsi eyo abaalabika mu kibuga.
20 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abakwata n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula.
21 Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bw'atyo Yuda n'atwalibwa nga musibe ng'aggibwa mu nsi ye.
22 N'abantu abaasigala mu nsi ya Yuda Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yaleka, abo n'abafuulira Gedaliya mutabazu wa Akikamu mutabani wa Safani omukulu waabwe.
23 Awo abaami bonna ab'eggye, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afudde Gedaliya omukulu, ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe.
24 Awo Gedaliya n'abalayirira bo n'abasajja baabwe n'abagamba nti Temutya olw'abaddu b'Abakaludaaya: mubeere mu nsi muweereze kabaka w'e Babulooni, kale muliba bulungi.
25 Naye olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama ow'ezzadde lya kabaka n'ajja n'abasajja kkumi wamu naye ne bafumita Gedaliya n'okufa n'afa, n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa.
26 Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne bagolokoka ne bajja e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya.
27 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu musanvu Evirumerodaki kabaka w'e Babulooni n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda okumuggya mu kkomera mu mwaka mwe yatanulira okufuga;
28 n'amugamba eby'ekisa n'agulumiza entebe ye okusinga bakabaka abaali awamu naye mu Babulooni.
29 N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera n'aliiranga emmere mu maaso, ge ennaku zonna ez'obulamu bwe.
30 N'okumuliisanga kabaka n'amuwa ebya bulijjo eby'okumuliisanga, buli lunaku omugabo gwalwo, ennaku zonna ez'obulamu bwe.