Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Bassekabaka 2 Kings

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25
1 Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kefuziba.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama beyagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
3 N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.
4 N'azimba ebyota mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.
5 Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.
6 N'ayisa mu muliro mutabani we, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
7 N'asimba ekifaananyi ekyole ekya Asera kye yakola mu nnyumba Mukama gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna:
8 so siriwabya nate bigere bya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; kyokka bwe baneekuumanga okukola nga byonna bwe biri bye mbalagidde era ng'amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa ge yabalagira.
9 Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
10 Awo Mukama n'ayogerera mu baddu be bannabbi nti
11 Kubanga Manase kabaka wa Yuda okoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna. Abamoli bye baakola abaamusooka, era ayonoonyesezza ne Yuda n'ebifaananyi bye:
12 Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli anaabuwuliranga n'okwamirira amatu ge gombi ne gaamirira.
13 Era ndireega ku Yerusaalemi omugwa ogw'e Samaliya n'ejjinja erigera ery'ennyumba ya Akabu: era ndisangula Yerusaalemi ng'omuntu bw'asangula essowaani, ng'agisangula era ng'agivunika.
14 Era ndisuula ekitundu ekifisseewo eky'obusika bwange ne mbagabula mu mukono gw'abalabe baabwe; kale balifuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna;
15 kubanga bakoze ebiri mu maaso gange ebibi ne bansunguwaza okuva ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviira mu Misiri ne leero.
16 Era nate Manase n'ayiwa omusaayi ogutaliiko musango, mungi nnyo okutuusa lwe yajjuza Yerusaalemi eruuyi n'eruuyi; obutasaako kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Yuda ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
17 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase ne byonna bye yakola n'okwonoona kwe kwe yayonoona tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
18 Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.
19 Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba.
20 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakola:
21 N'atambulira mu kkubo lyonna kitaawe lye yatambuliramu n'aweereza ebifaananyi kitaawe bye yaweereza n'abisinza:
22 n'ava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe n'atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23 Abaddu ba Amoni ne bamwekobaana ne battira kabaka mu nnyumba ye ye.
24 Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.
25 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amoni bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
26 N'aziikibwa mu ntaana ye mu lusuku lwa Uzza: Yosiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]