Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Bassekabaka 2 Kings

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25
1 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowsi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakzi mutabani wa Yeeku n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu.
2 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivmu.
3 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'ebagabula mu mukono igwa Kazayeeri kabaka We Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna.
4 Awo Yekoyakzi n'amwegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka We Busuuli bwe yabajooga.
5 (Awo Mukama n'awa Isiraeri omulokozi n'okuva ne bava wansi w'omukono gw'Abasuuli: abna ba Isiraeri ne babeera mu weema zbwe ng'olubereberye.
6 Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowmu bye yayonoonyesa Isiraeri, naye ne batambulira omwo: ne Bsera ne basigala mu Samaliya.)
7 Kubanga teyalekera Yekoyakzi ku bantu wabula abasajja abeebagala embalsi amakumi atno n'amagli kkumi n'abatambula n'ebigere kakumi; kubanga kabaka w'e Busuuli yabazikiriza, n'abafuula ng'enfuufu ey'omu gguuliro.
8 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakzi ne byonna bye yakola n'amnyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
9 Yekoyakzi ne yeebakira wamu ne bajjajjbe; ne bamuziika mu Samaliya: Yowsi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
10 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogwa Yowsi kabaka wa Yuda Yekoysi mutabani wa Yekoyakzi n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukga.
11 N'akola ebyali mu mso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowmu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: naye n'atambulira omwo.
12 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowsi ne byonna bye yakola n'amnyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
13 Yowsi ne yeebakira wamu ne bajjajjbe; Yerobowmu n'atuula ku ntebe ye: Yowsi n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bassekabaka ba Isiraeri.
14 Awo Erisa yali alwadde endwadde ye eyamutta: Yowsi kabaka wa Isiraeri n'aserengeta gy'ali n'amukbira amaziga n'ayogera nti Kitange, kitange, amagli ga Isiraeri n'absajja be abeebagala embalsi!
15 Erisa n'amugamba nti Ddira omutego n'obusle: n’addira omutego n'obusle.
16 N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Teeka omukono gwo ku mutego: n'aguteekako omukono. Erisa n'ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka.
17 N'ayogera nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Awo Erisa n'ayogera nti Lasa: n'alasa. N'ayogera nti Akasle ka Mukama ak'obulokozi, ke kasle ak'obulokozi eri Obusuuli: kubanga olikuba Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'o libamalawo.
18 N'ayogera nti Ddira obusle: n'abuddira. N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Kuba ku ttaka: n'akuba emirundi esatu n'alekera awo.
19 Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etno oba mukga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kkano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka.
20 Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowbu ne bazindanga ensi omwaka bwe gwayingiranga.
21 Awo olwatuuka bwe bli nga baziika omusajja, kale, laba, ne balaba ekibiina; ne basuula omusajja mu ntna ya Erisa: awo omusajja nga kyajje akome ku magumba ga Erisa, n'alamuka n'ayimirira n'ebigere.
22 Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajoogera Isiraeri emirembe gyonna egya Yekoyakzi.
23 Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abassira n'assyo omwoyo eri bo, olw'endagno ye gye yalagna ne Ibulayimu ne Iska ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu mso ge mu biro ebyo.
24 Awo Yekoysi mutabani wa Yekoyakzi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukonc gwa Yekoyakzi kitwe ng'alwa. na. Yowsi n'amukuba emirund esatu, n'akomyawo ebibuga by. Isiraeri.
25 Awo Yekoysi mutabani wa Yekoyakzi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukonc gwa Yekoyakzi kitwe ng'alwa. na. Yowsi n'amukuba emirund esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]