1 Awo kabaka n'atuma, ne bakuŋŋaanyiza gy'ali abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yeru saalemi.
2 Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi wamu naye ne bakabona ne bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu: n'asoma mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.
3 Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira okwesibira endagaano.
4 Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogw'okubiri n'abaggazi, okufulumya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera n'eggye lyonna ery'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kiduloni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri.
5 N'aggyawo bakabona abaasinza ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterereza obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye n'eggye lyonna ery'omu ggulu.
6 N'aggya Asera mu nnyumba ya Mukama ebweru wa Yerusaatemi n'akireeta ku kagga Kiduloni n'akyokera ku kagga Kiduloni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n’asuula effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi.
7 N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
8 N'aggya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda, n'ayonoona ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okuruuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu eby'oku nzigi ebyali awayingirirwa mu mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ogw'omuntu awali wankaaki w'ekibuga.
9 Era naye bakabona ab'ebifo ebigulumivu ne batayambuka eri ekyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, naye ne baliiranga emigaati egitazimbulukuswa mu baganda baabwe.
10 Era n'ayonoona Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okuyisa omwana we ow'obulenzi newakubadde ow'obuwala mu muliro eri Moleki.
11 N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawadde enjuba, awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyaliraana yeekaalu; n'ayokya amagaali g'enjuba omuliro.
12 N'ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, kabaka n'abimenyamenya n'abisindika wansi okubiggya yo, n'asuula enfuufu yaabyo mu kagga Kiduloai.
13 N'ebifo ebigulumivu ebyayolekera Yerusaalemi ebyali ku mukono ogwa ddyo ogw'olusozi olw'obwonoonefu, Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yazimbira Asutaloosi omuzizo gw'Abasidoni ne Kemosi omuzizo gwa Mowaabu ne Mirukomu omuzizo gw'abaana ba Amoni, kabaka n'abyonoona.
14 N'amenyamenya empagi n'atema Baasera n'ajjuza ebifo byabwe amagumba g'abantu.
15 Era n'ekyoto ekyali e Beseti n'ekifo ekigulumivu n'abimenyamutabani wa Nebati eyayonoonyesa Isiraeri kye yakola, ekyoto ekyo n'ekifo ekigulumivu n'ebimenyamenya; n'ayokya ekifo ekigulumivu n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n'ayokya Asera.
16 Awo Yosiya bwe yakebuka n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'aggya amagumba mu malaalo n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama omusajja wa Katonda kye yalangira eyalangira ebigambo bino.
17 Awo n'ayogera nti Kijjukizo ki ekyo kye ndaba? Abasajja ab'omu kibuga ne bamubuulira nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri.
18 N'ayogera nti Mumuleke; omuntu yenna aleme okusimula amagumba ge. Awo ne baleka amagumba ge wamu n'amagumba ga nnabbi eyava mu Samaliya.
19 Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri go baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo naakola ag'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri.
20 N'attira bakabona bonna ab'ebifo ebigulumivu abali eyo ku byoto, n'abyokerako amagumba g'abantu; n'addayo e Yetusaalemi.
21 Awo kabaka n'alagira abantu bonna ag'ayogera nti Mukwate Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo , kino eky'endagaano.
22 Mazima tebaakwatanga: Kuyitako okwenkana awo okuva ku mirembe gy'abalamuzi abaalamula Isiraeri newakubadde mu mirembe gyonna egya bassekabaka ba Isiraeri newakubadde mu gya bassekabaka ba Yuda;
23 naye mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya ne bakwata Okuyitako okwo eri Mukama mu Yerusaalemi.
24 Era nate abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna egyalabika mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi Yosiya n'abiggyawo, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama.
25 Era tewali kabaka eyamusooka eyamufaanana eyakyukira Mukama n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna n'amaanyi ge; gonna ng'amateeka ga Musa gonna bwe gali; so n'oluvannyuma lwe tewaagolokoka n'omu eyamufaanana.
26 Era naye Mukama n'atakyuka kuleka ekiruyi kye ekingi ekyabuubuusa obusungu bwe eri Yuda olw'okusunguwaza kwonna Manase kwe yamusunguwaza.
27 Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo ne Yuda mu manso gange nga bwe nziyeewo Isiraeri, era ndisuula ekibuga kino kye nneeroboza, Yerusaalemi, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange linaabanga eyo.
28 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
29 Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atabaala kabaka w'e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n'amutabaala: n'amuttira e Megiddo bwe yamulaba.
30 Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atabaala kabaka w'e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n'amutabaala: n'amuttira e Megiddo bwe yamulaba.
31 Yekoyakaazi, yali yaakamaze emYaka amakumi abiri mu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
32 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola.
33 Awo Falaawoneko n'amusibira, mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi n'ezaabu, talanta emu.
34 Awo Falaawoneko, n'afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'awaanyisa erinnya lye', n'amutuuma Yekoyakimu: naye n'aggyayo Yekoyakaazi; n'ajja e Misiri n'afiira eyo.
35 Awo Yekoyakimu n'awa Falaawo effeeza n'ezaabu; naye n'asalira ensi ebintu okuwaayo effeeza eyo nga Falaawo bwe yalagira: yasoloozza effeeza n'ezaabu ku bantu ab'omu nsi, ku buli muntu nga bwe yasalirwa ebintu, okubiwa Falaawoneko.
36 Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano, bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali: Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma.
37 N'akola ebyali mu' maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola.