1 Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku Yekoysi n'atanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yeruslemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
2 Yekoysi n'akola ebyali mu mso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyda kabona ze yamuyigirizmu.
3 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawyo ssaddka ne bootereza obubne ku bifo ebigulumivu.
4 Awo Yekoysi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, eziyitaŋŋana, effeeza ez'abantu buli muntu z'awandiikirwa, n'effeeza zonna omuntu yenna ze yettula okuleeta mu nnyumba ya Mukama,
5 bakabona bazitwale ewbwe, buli muntu ng'aziggya ku abo b'amanyi: kale baliziba ebituli by'ennyumba, yonna yonna ekituli gye - kinlabikira.
6 Naye olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Yekoysi bakabona nga tebannaziba bituli bya nnyumba.
7 Awo kabaka Yekoysi n'ayita Yekoyda kabona ne bakabona abalala n'abagamba nti Kiki ekibalobera okuziba ebituli by'ennyumba? kale nno temweyongera kuggya ffeeza ku abo be mumanyi, naye mugisasule olw'ebituli by'ennyumba.
8 Awo bakabona ne bakkiriza obutaggya nate ffeeza ku bantu newakubadde okuziba ebituli by'ennyumba.
9 Naye Yekoyada kabona n'addira ebbweta n'awummula ekituli mu kisnikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abkuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezleetebwanga mu nnyumba ya Mukama.
10 Awo olwatuuka bwe blaba nga mu bbweta mulimu effeeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bambuka, ne batereka effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama mu nsawo, ne bazibala.
11 Ne bawa effeeza ezgerebwa mu mikono gy'abo abkola emirimu ablabirira ennyumba ya Mukama: ne baziwyo eri ababazzi n'abazimbi abkola emirimu gy'ennyumba ya Mukama,
12 n'eri abazimbi b'amayinja n’abatema amayinja n'olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuziba ebituli by'ennyumba ya Mukama, n'olwa byonna ebyajjirira ennyumba okugiddbiriza.
13 Naye ebikompe ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'amakondeere n'ebintu byonna ebya zbu oba ebintu ebya ffeeza tebyakolerwa nnyumba ya Mukama n'effeeza ezletebwa mu nnyumba ya Mukama:
14 kubanga ezo ne baziwa abo abkola emirimu, era ne baziddbirizisa ennyumba ya Mukama.
15 Era tebbalirira muwendo eri abasajja be bwa effeeza mu mukono gwabwe okubawa abo abkola emirimu: kubanga bko langa n'obwesigwa.
16 Effeeza ez'ebiweebwayo olw'omusango n'effeeza ez'ebiweebwayo olw'okwonoona tezleetebwa mu nnyumba ya Mukama: zbanga za bakabona.
17 Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ayambuka n'alwana ne Gsi n'akimenya: Kazaeri n'asimba amso ge okwambuka e Yeruslemi.
18 Awo Yekoysi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna ebyatukuzibwa, Yekosafti ne Yekolmu ne Akaziya bajjajjbe bassekabaka ba Yuda bye bwonga, n'ebintu bye ye ebyatukuzibwa n'ezbu yonna eyalabika mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka We Busuuli: n'ava ku Yeru-'slemi.
19 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowsi ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
20 Abaddu be ne bagolokoka ne beekobna ne, battira Yowsi awali ennyumba ey'e Miiro ku kkubo eiiserengeta e Sirra.
21 Kubanga Yozakali mutabani wa Simeysi ne Yekozabadil mutabani wa Someri, abaddu be bmufumita n'afa; ne bamuziikira wamu ne bajjajjbe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.