1 Awo Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali musajja mukulu eri mukama we era wa kitiibwa, kubanga ku bw'oyo Mukama yali awadde Obusuuli okuwangula: era yali musajja wa maanyi muzira, naye yali mugenge.
2 Awo Abasuuti baali batabadde bibiina, ne banyaga ne baggya mu nsi ya Isiraeri omuwala omuto; awo n'aweerezanga muka Naamani.
3 Awo n'agamba mugole we nti Singa mukama wange ali ne nnabbi ali mu Samaliya! kale yandiwonye ebigenge bye:
4 Awo ne waba ayingira n'abuulira mukama we nti Bw'ati bw'ati bw'ayogedde omuwala ow'omu nsi ya Isiraeri.
5 Awo kabaka We Busuuli n'ayogera nti Kale nno naaweereza kabaka wa Isiraeri ebbaluwa. N'ageada n'atwala talanta kkumi eza ffeeza n'ebitundu kakaaga ebya zaabu n'emiteeko gy'ebyambalo kkumi.
6 N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'ayogera nti Kale nno ebbaluwa eno bw'eriba ng'etuuse gy'oli, laba, nkutumidde.Naamani omuddu wange omuwonye ebigenge bye.
7 Awo olwatuuka kabaka wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? naye mulowooze, mbeegayiridde, mutegeere bw'anoonya ky'anannanga okuyomba nange.
8 Awo olwatuuka Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza ebyambalo bye n'atumira kabaka ng'ayogera nti Lwaki okuyuza ebyambalo byo? ajje nno gye ndi, kale anaamanya nga mu Isiraeri mulimu nnabbi.
9 Awo Naamani n'ajja n'embalaasi ze n'amagaali ge, n'ayimirira ku luggi lw'ennyumba ya Erisa.
10 Erisa n'amutumira omubaka ng'ayogera nti Genda onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, kale omubiri gwo gulidda gy'oli, naawe oliba mulongoofu.
11 Naye Naamani n'asunguwala, ne yeddirayo n'ayogera nti Laba, mbadde ŋŋamba nti taaleme kufuluma gye ndi n'ayimirira n'asaba erinnya lya Mukama Katonda we n'ayisayisa engalo awali ekifo, n'awonya omugenge.
12 Abana ne Falufali emigga egy'e Ddamasiko tegisinga bulungi mazzi gonna aga Isiraeri? siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? Awo n'akyuka n'agenda ng'aliko ekiruyi.
13 Awo abaddu be ne basembera ne boogera naye nti Kitange, nnabbi singa akulagidde okukola ekigambo ekikulu, tewandikikoze? kale toosinge nnyo bw'akugambye nti Naaba obe mulongoofu?
14 Awo n'aserengeta ne yennyika. mu Yoludaani emirundi musanvu ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: omubiri gwe ne. gudda nate ng'omubiri gw'omwana omuto, n’aba mulo ngoofu.
15 Awo n'addayo eri omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ajja n'ayimirira mu maaso ge: n'ayogera nti Laba nno ntegedde nga tewali Katonda mu nsi zonna wabula mu Isiraeri: kale nno, nkwegayiridde, toola ekirabo ku muddu wo.
16 Naye n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, siitoole kyonna. N'amutayirira okukitoola; naye n'agaana.
17 Awo Naamani n'ayogera nti Oba tootoole, naye nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eryetikkibwa n'ennyumbu bbiri; kubanga omuddu wo takyawaayo okuva leero ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka eri bakatonda abalala wabula eri Mukama.
18 Mukama asonyiwe omuddu wo mu kigambo kino; mukama wange bw'anaayingiranga mu kigwa kya Limmoni okusinzizaayo ne yeesigama ku mukono gwange ne nkutama mu kigwa kya Limmoni, bwe nnaakutamanga mu kigwa kya Limmoni, Mukama asonyiwenga omuddu wo mu kigambo ekyo.
19 N'amugamba nti Genda mirembe. Awo ne baawukana n'atambulako akabanga.
20 Naye Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, mukama wange asonyiye Naamani ono Omusuuli okutoola mu mikono gye ekyo kye yaleeta: nga Mukama bw'ali omulamu, nadduka ne mmugoberera mbeereko kye nnaamuggyako.
21 Awo Gekazi n'agoberera Naamani. A'wo Naamani bwe yalaba amugoberera, n'ava ku ggaali okumusisinkana, n'ayogera nti Mirembe?
22 N'ayogera nti Mirembe. Mukama wange antumye ng'ayogera nti Laba, kaakano kyebajje bajje gye ndi nga bava mu nsi y'ensozi eya Efulayimu abalenzi babiri ab'oku baana ba bannabbi; nkwegayiridde, bawe talanta ya ffeeza n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri.
23 Awo Naamani n'ayogera nti Kkiriza, otoole talanta bbiri. N'amutayirira, n'asiba talanta bbiri eza ffeeza -mu nsawo bbiri wamu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri, n'abitikka abaddu be babiri: ne bazetikkira mu maaso ge.
24 Awo bwe yatuuka ku lusozi, n'abiggya mu mukono gwabwe n'abitereka mu nnyumba: n'asindika abasajja ne baddayo.
25 Naye n'ayingira n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Erisa n'amugamba nti Ova wa, Gekazi? N'ayogera nti Omuddu wo taliiko gy'agenze.
26 N'amugamba nti Omutima-gwange tegugenze naawe, omusajja bw'akyuse okuva mu ggaali lye okusisinkana naawe? Kye kiseera okutoola ffeeza n'okutoola ebyambalo n'ensuku z'emizeyituuni n'ensuku z'emizabbibu n'endiga n'ente n'abaddu n'abazaana?
27 Kale ebigenge bya Naamani bineegatta naawe n'ezzadde lyo emirembe gyonna. N'ava w'ali nga mugenge atukula ng'omuzira.