Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Olubereberye Genesis

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50
1 Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi.
2 Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi.
3 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu.
4 Katonda n'alaba nga kirungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikizza.
5 Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu.
6 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi.
7 Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali.
8 Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri.
9 Katonda n'ayogera nti, Amazzi agali wansi w'ggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali.
10 Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga kirungi.
11 Katonda n'ayogera nti, ensi emere ebimeera, omuddo ogubala ensigo, omuti gw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali.
12 Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mungeri yaagwo: Katonda n'akiraba nga kirungi.
13 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu.
14 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu; byawulenga emisana n'ekiro, bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka:
15 Bibenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu bakenga ku nsi: bwe kityo be kyali.
16 Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro: era n'emmunyeenye.
17 Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi,
18 bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga obutangaavu n'elizikiza: Katonda n'akiraba nga kirungi.
19 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okuna.
20 Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu.
21 Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyona mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi.
22 Katonda n'abiwa omukisa n'ayongera nti, Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi.
23 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano.
24 Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali.
25 Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaazo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi.
26 Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi.
27 Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabaonda.
28 Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abangamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye: mufugenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu, nabuli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.
29 Katonda n'ayogera nti, Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu, ekibala ky'omuti ogubala ensigo eri mmwe; gunaabanga mmere.
30 n'eri buli enolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu mukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali.
31 Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, nga kirungi. Ne buba akawungeezi ne buba, enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]