1 Yakobo n'abeeranga mu nsi kitaawe mwe yatuulanga mu nsi ya Kanani.
2 Okuzaala kwa Yakobo kuukuno. Yusufu bwe yali yaakamaze emyaka kkumi na musanvu, yali alunda ekisibo awamu ne baganda be: omulenzi n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe: Yusufu n'abuuliranga lutaabwe ebigambo byabwe ebibi.
3 Era Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye: n'amutungira ekizibawo eky'amabala amangi.
4 Baganda be ne balaba nga kitaawe yamwagala okusinga baganda be bonna; ne bamukyawa, ne batayinza kwogera naye wabula eby'okuyomba.
5 Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be: ne beeyongera nate okumukyawa.
6 N'abagamba nti Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye ndoose:
7 kubanga, laba, twali tusiba ebinywa mu nnimiro, era laba, ekinywa kyange ne kiyimirira, era ne kyesimba; era, laba, ebinywa bwammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa kyange.
8 Baganda be ne bamugamba nti Okufuga olitufuga ggwe? oba kutwala. olitutwala ggwe? Ne beeyongera aate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye.
9 N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti Laba, ndoose n'ekirooto ekirala; era, laba, enjuba n'omwezi n'emmunnyeenye ekkumi n'emu ne binvuunamira.
10 N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti Kirooto ki kino ky'oloose? Nze ne nnyoko ne lbaganda bo okujja tulijja okukuvuunamira?
11 Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'ajjukira ebyo bye yayogera.
12 Baganda be ne bagenda okulunda ekisibo kya kitaabwe mu Sekemu.
13 Isiraeri n'agamba Yusufu nti Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? jjangu nkutume gye bali. N'amugamba nti Nze nzuuno.
14 N'amugamba nti Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gyekiri kirungi; okomewo ombuulire. Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu.
15 Omusajja n'amulaba, era, laba, yali akyamidde mu nsiko: omusajja n'amubuuza nti Onoonya ki?
16 N'ayogera nti Nnoonya baganda bange: mbuulira, nkwegayiridde, gye balundidde ekisibo.
17 Omusajja n'ayogera nti Baagenda: kubaaga nabawulira nga boogera nti Tugende e Dosani. Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani.
18 Ne bamuleagera ng'akyali wala, ne bamwekobaana nga tannabasemberera okumutta.
19 Ne bagambagana nti Laba, sekalootera wuuyo ajja.
20 Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti Ensolo enkambwe ye yamulya: ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.
21 Lewubeeni n'awulira ekyo, n'amuwonya mu mukono gwabwe; n'ayogera nti Tuleme okumuttira ddala.
22 Lewubeeni n'abagamba ati Temuyiwa musaayi; mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumussaako mukono: alyoke amuwonye mu mukono gwabwe, okumuddiza kitaawe.
23 Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bambula Yusufu ekizibawo kye, ekizibawo eky'amabala amangi kye yali ayambadde;
24 ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya: n'obunnya bwali bukalu nga temuli mazzi.
25 Ne batuula okulya emmere: ne bayimusa amaaso gaabwe ne batunula, era, laba, ekibiina ky'Abaisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne moli, nga babitwala mu Misiri.
26 Yuda n'agamba baganda be nti Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe?
27 Kale ttumuguze Abaisimaeri, so omukono gwaffe guleme okumubaako; kubanga ye muganda waffe, gwe mubiri gwaffe. Baganda be ne bamuwulira.
28 Abamidiyaani, ab'obuguzi, ne bayitawo; ne bawalula Yusufu ne bamuggya mu bunnya, ne baguza Abaisimaeri Yusufu ebitundu by'effeeza amakubi abiri. Ne batwala Yusufu mu Misiri:
29 Lewubeeni n'addayo eri obunnya; era, laba, Yusufu teyali mu bunnya; n'ayuzaayuza engoye ze.
30 N'addayo eri baganda be, n'ayogera nti Omwana taliiyo; nange ndigenda wa?
31 Ne baddira ekizibawo kya Yusufu, ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekizibawo mu musaayi;
32 ne baweereza ekizibawo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe; ne boogera nti Twalaba kino: kaakano tegeera obanga kye kizibawo eky'omwana wo nantiki si kyo.
33 N'akitegeera, n'ayogera nti Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo embi yamulya; Yusufu yataagulwataagulwa awatali kubuusabuusa.
34 Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we ennaku nnyingi.
35 Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n'agaana okusanyusibwa; n'ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n'amulirira amaziga.
36 Abamidiyaani ne bamuguza Potifali mu Misiri, ye mwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa.