1 Yusufu n'alyoka ayingira n'abuulira Falaawo n'ayogera nti Kitange ne baganda baage, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse bavudde mu nsi ya Kanani; era, laba, bali mu nsi y'e Goseni.
2 N'alonda ku bagaada be abasajja bataano, n'abaleetera Falaawo.
3 Falaawo n'agamba baganda be nti Emirimu gyammwe ki? Ne bagamba Falaawo nti Abaddu bo basumba, ffe era ne bajjajja baffe.
4 Ne bagamba Falaawo ati Tuzze okuruula mu nsi; kubanga tewali muddo gwa bisibo bya baddu bo; kubanga enjala nayingi mu nsi ya Kanani: kale tmo kaakano, tukwegayiridde, abaddu bo batuule mu asi y'e Goseni
5 Falaawo n'agamba Yusufu nti Kitaawo ne baganda bo bazze ewuwo:
6 ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi ruuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange.
7 Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amuteeka mu maaso ga Falaawo: Yakobo n'asabira Falaawo omukisa.
8 Falaawo n'agamba Yakobo nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwo ziri mmeka?
9 Yakobo n'agamba Falaawo nti Ennaku ez'emyaka egy'okutambula kwange ziri myaka kikumi mu asatu: ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange ziri ntono era mbi, so teziwera nnaku za myaka gya bulamu bwa bajjajja bange mu nnaku ez'okutambula kwabwe.
10 Yakobo n'asabira Falaawo omukisa, n'ava mu maaso ga Falaawo.
11 Yusufu n'atuuza kitaawe ne, baganda be, n'abawa obutaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu nsi, mu nsi ya Lamesesi, nga Falaawo bwe yalagira.
12 Yusufu n'aliisa kiiaawe ne baganda be n'ekika kyonna ekya kitaawe n'emmere, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali.
13 Ne wataba mmere mu nsi yonna: kubanga enjala yali nnyingi nnyo, ensi y'e Misiri n'ensi ya Kanani n'okuzirika ne zizirika olw'enjala.
14 Yusufu n'akuŋŋaaaya effeeza yonna eyalabikira mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, ag'abaguza eŋŋaano: Yusufu n'aleeta effeeza mu anyumba ya Falaawo.
15 Effeeza yonna bwe yaggwa mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, Abamisiri bonna ne bajjira Yusufu ne boogera nti Tuwe emmere: kubanga kyetunaava tufiira mu maaso go kiki? kubanga effeeza etubuze.
16 Yusufu n'ayogera nti Muweeyo ensolo zammwe; nange n'abaweeranga ensolo zammwe, effeeza bw'eribabula.
17 Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe Yusufu n'abawaanyisa emmere n'embalaasi n'eadiga n'ente n'endogoyi: n'abaliisiza emmere omwaka ogwo ng'abawaanyisiza ensolo zaabwe zonna.
18 Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bamujjira mu mwaka ogw'okubiri, ne bamugamba ati Tetuukise mukama wange ng'effeeza yaffe yoana yaggwaawo; n'ebisibo by'ensolo bya mukama wange: tewali ekisigaddewo mu maasa ga mukama wange, wabula emibiri gyaffe n'ebyalo byaffe:
19 kyetunaava tufiira mu maaso go kiki, ffe n'ensi yaffe era? tugule ffe n'ensi yaffe n'emmere, naffe n'ensi yaffe tuliba baddu ba Falaawo: tuwe ensigo, tube abalamu tuleme okufa, ensi ereme okuzika.
20 Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonua ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muatu ennimiro ye, kubanga enjala yabayingirira: ensi n'efuuka ya Falaawo.
21 N'abantu n’abajjulula n'abassa mu bibuga okuva ku nsalo y'e Misiri weekoma okutuusa ku nkomerero yaayo endala.
22 Ensi ya bakabona yokka gy’ataagula: kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga omugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kyebaava balema okutunda ensi yaabwe.
23 Yusufu n'alyoka agamba abantu nti Laba, ngulidde leero Falaawo mmwe n'ensi yammwe: laba, easigo zammwe ziizino, munaasiga ensi.
24 Era olulituuka bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu eky'okutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, okuba eby'okusiga eanimiro n'okuba emmere yammwe era n'ab'omu nnyumba zammwe n'okuba emmere ey'abaana bammwe abato.
25 Ne boogera nti Otuwonyezza mu kufa: tulabe ekisa mu maaso ga mukama wange, era tuliba baddu ba Falaawo.
26 Yusufu n'ateeka etteeka eryo ery'ensi y'e Misiri ne leero, Falaawo okuweebwanga ekitundu eky'okutaano; naye ensi ya bakabona yokka ye etaafuuka ya Falaawo.
27 Isiraeri n'atuula mu asi y'e Misiri, mu nsi y'e Goseni; ne bafunira omwo ebintu, ne baala, ne beeyongera nnyo.
28 Yakobo n'amala emyaka. kkumi na musanvu mu asi y'e Misiri: bwe zityo ennaku za Yakobo, emyaka egy'obulamu bwe, zaali myaka kikumi mu ana mu musanvu.
29 Ebiro ne bitera okutuuka Isiraeri by'agenda okufiiramu: n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange, onkolere eby'ekisa n'eby'amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri:
30 naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onziye mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky'okuziikangamu. N'ayogera nti Ndikola nga bw'oyogedde.
31 N'ayogera nti Ndayirira: n'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe.