1 Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti Mufulumye buli muntu bave gye ndi. Ne wataba muntu ayimiridde naye, Yusufu bwe yali yeeyoleka eri baganda be.
2 N'akaaba n'eddoboozi ddene: Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira.
3 Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge.
4 Yusufu n'agamba baganda be nti Munsemberere, mbeegayiridde. Ne basembera. N'ayogera nti Nze Yusufu muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri.
5 Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa.
6 Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.
7 Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo.
8 Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri:
9 Mwanguwe, mwambuke mugende eri kitange, mumugambe nti Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti Katonda yanfuula omwami w'e Misiri yonna : oserengete ojje gye ndi, tolwawo:
10 era onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abaana b'abaana bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina:
11 era naakuliisizanga eyo; kubanga ekyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala; oleme okwawwala, ggwe n'ennyumba yo ne byonna by'olina.
12 Era, laba, amaaso gammwe galaba, era n'amaaso ga muganda wange Benyamini, ng'akamwa kange ke koogera nammwe.
13 Era mulibuulira kitange ekitiibwa kyange kyonna mu Misiri bwe kiri, ne byonna bye, mulabye; era mwanguwe muserengese kitange mumuleete wano.
14 N'agwa muganda we Benyamini mu bulago n'akaaba amaziga; Benya_ mini n'akaabira mu bulago bwe.
15 N'anywegera baganda be bonna, n'akaabira ku bo: oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.
16 N'ebigambo ebyo ne biwulirwa mu nnyumba ya Falaawo, nti Baganda ba Yusufu bazze : ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaddu be.
17 Falaawo n'agamba Yusufu nti Gamba baganda bo nti Mukole bwe muti; muteeke ebintu ku nsolo zammwe, mugende muserengete mu nsi ya Kanani;
18 mutwale kitammwe n'ennyumba zammwe, mujje ewange: nange ndibawa ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri, era munaalyanga obugimu obw'ensi.
19 Kaakano olagiddwa, mukole bwe muti: mutwalire abaana bammwe abato ne bakazi bammwe amagaali mu nsi y'e Misiri, muleete kitammwe mujje.
20 Era temulowooza bintu byammwe; kubanga ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri byammwe.
21 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo: Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo.
22 Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza ebikumi bisavu n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano.
23 Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati; endogoyi kkumi ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezeetisse eŋŋaano n'emmere n'ebyokulya kitaawe by'aliriira mu kkubo.
24 Bw'atyo n'asiibula baganda be 'ne bageada: n’abagamba nti Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo.
25 Ne bayambuka ne bava mu Misiri, ne bajja mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe.
26 Ne bamugamba ati Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Omutima gwe ne guzirika kubanga teyabakkiriza.
27 Ne bamugamba ebigambo byonna ebya Yusufu, bye yababuulira: kale bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumusitula, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amannyi:
28 Isiraeri n'ayogera nti Kinaamala; Yusufu omwaaa wange akyali mulamu: ndigenda okumulaba nga sinnafa.