1 Isiraeri n'atambula ng'atwala byonna bye yalina, n'ajja e Beeruseba, n'awaayo saddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2 Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, nti Yakobo, Yakobo. N'ayogera nti Nze nzuuno.
3 N'ayogera nti Nze Katonda, Katonda wa kitaawo: totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene:
4 ndiserengeta naawe mu Misiri; era sirirema kukuggyamu nate: era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go.
5 Yakobo n'agolokoka n'ava mu Beeruseba: abaana ba Isiraerii ne basitulira Yakobo kitaabwe, n'abaana baabwe abato n'abakazi baabwe, mu magaali Falaawo ge yaweereza okumusitula.
6 Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bajja mu Misiri, Yakobo n'ezzadde lye lyonna awamu naye:
7 batabani be n'abaana ba batabani be wamu naye, bawala be n'abawala ba batabani be, n'ezzadde lye lyonna be yatwala naye bwe yageada mu Misiri.
8 N'amaanya g'abaana ba Isiraeri, abajja mu Misiri, Yakobo ne batabani be, ge gano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo.
9 Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni; ne Kalumi.
10 N'abaana ba Simyoni abasajja; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani.
11 Ne batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
12 Ne batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi, ne Zeera: naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli.
13 Ne batabani ba Isakaali; Tola, ne Puva, ne Yobu, ne Simulooni.
14 Ne batabani ba Zebbulooni; Seredi, ne Eroni, ne Yaleeri.
15 Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu n'omuwala we Dina: abaana be bonna abasajja n'abakazi baali obulamu asatu mu busatu.
16 Ne batabani ba Gaadi: Zifiyooni, ne Kagi, Suni, ne Ezeboni, Eri, ne Alodi, ne Aleri
17 Ne batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe: ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri.
18 Abo be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya omwana we, era abo be yazaalira Yakobo, bwe bulamu ekkumi n'omukaaga.
19 Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo; Yusufu ne Benyamini.
20 Era Yusufu n'azaalirwa mu nsi y'e Misiri Manase ne Efulayimu, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira.
21 Ne batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, Eki, ne Losi, Mupimu, ne Kupimu, ne Aludi.
22 Abo be batabani ba Laakeeri, abaazaalirwa Yakobo: obulamu bwonna bwali kkumi na buna.
23 Ne batabani ba Ddaani; Kusimu.
24 Ne batabani ba Nafutaali; Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
25 Abo be batabani ba Bira, Labbaani gwe yawa Laakeeri omwana we, era abo be yazaalira Yakobo: obulamu bwonna bwali musanvu.
26 Obulamu bwonna obwayingira mu Misiri awamu ne Yakobo, obwava mu ntumbwe ze, obutassaako bakazi b'abaana ba Yakobo, obulamu bwonna bwali nkaaga mu mukaaga;
27 ne batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali bulamu bubiri: obulamu bwonna obw'ennyumba ya Yakobo, obwayingira mu Misiri, bwali nsanvu.
28 N'atuma Yuda okumukulembera eri Yusufu, okulaga ekkubo mu maaso ge erigenda mu Goseni; ne batuuka mu nsi y'e Goseni.
29 Yusufu n'ateekateeka eggaalilye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy'ali, n'amugwa mu bulago, n'akaaba amaziga mu bulago bwe ekiseera ekinene.
30 Isiraeri n’agamba Yusufu nti Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng'okyali mulamu.
31 Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti N'ayambuka ne mbuulira Falaawo ne mmugamba nti Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi Kanani, bazze ewange:
32 era abasajja be basumba, kubanga baalundanga nte; era baleese endiga zaabwe n'ente zaabwe ne byonna bye balina.
33 Awo olulituuka Falaawo bw'alibayita bw'alyoger nti Emirimu gyammwe ki?
34 Mwogeranga nti Abaddu bo baalundanga nte okuva mu buto bwaffe okutuusa leero, ffe era ne bajjajja baffe: mulyoke mutuule mu nsi y'e Goseni: kubanga buli musumba kya muzizo eri Abamisiri.