1 Yakobo n'alyoka agenda ng'a tambula, n'ajja mu nsi ey'abaana ab'ebuvanjuba.
2 N'atunu la, era, laba, oluzzi mu nnimiro, era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi: kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo: n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene.
3 N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo: ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi, ne banywesa endiga, ne bazza ejjinja ku kamwa k'oluzzi, mu kifo kyalyo.
4 Yakobo n'abagamba nti Baganda bange, muva wa? Ne boogera nti Tuli ba Kalani.
5 N'abagamba nti Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli? Ne boogera nti Tumumanyi.
6 N'abagamba nti Mulamu? Ne boogera nti Mulamu: era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga.
7 N'ayogera nti Laba, enjuba ekyali mu luggya; so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa: munywese endiga, mugende muziriise.
8 Ne boogera nti Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa, ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi: ne tulyoka tunywesa endiga.
9 Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga yeyazirundanga.
10 Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani mwannyina nnyina n'endiga za Labbaani mwannyina nnyiaa, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku kamwa k'oluzzi, n’anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.
11 Yakobo n'anywegera Laakeeri, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
12 Yakobo n'abuulira Laakeeri nga ye muganda wa kitaawe, era nga ye mwana wa Lebbeeka: n'addukena mbiro n'abuulira kitaawe.
13 Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina n'addukana okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. N'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.
14 Labbaani n'amugamba nti Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange. N'atuula naye n'amalayo omwezi gumu.
15 Labbaani n'agamba Yakobo nti Kubanga oli muganda wange kyekiva kikugwanira okumpeererezanga obwereere? mbuulira, empeera yo eneebanga ki?
16 Era Labbaani yalina abawala babiri: erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri.
17 Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge ga kusanyusa.
18 Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti Naakuweererezanga emyaka musanvu mpeebwe Laakee ri omwana wo omuto.
19 Labbaani n'ayogera nti Waakiri mmukuwe ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala; beera nange.
20 Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gifaanana ng'ennaku si nnyingi olw'okwagala kwe yamwagala.
21 Yakobo n'agamba Labbaani nti Mpa omukazi wange, kubanga ennaku zange zituukiridde, nnyingire gy'ali.
22 Labbaani n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga.
23 Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; n'ayingira gy'ali.
24 Labbaani n'amuwa Zirupa omuzaana we eri omwana we Leeya okuba omuzaana.
25 Awo olwatuuka enkya n'alaba nga ye Leeya: n'agamba Labbaani' nti Kino kiki ky'onkoze? saakuweereza lwa Laakeeri? kale kiki ekikuanimbizza?
26 Labbaani n'ayogera nti Tebakola bwe batyo mu kifo kyaffe okuwa omuto okusooka omubereberye.
27 Mala ennaku musanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala olw'okuweereza kw'onompeerezanga nate emyaka omusanw emirala.
28 Yakobo n'akola bw'atyo, n'amala ennaku ze musanvu: n'amuwa Laakeeri omwana we okumuwasa.
29 Labbaani n'awa Laakeeri omwana we Bira omuzaana we okuba omuzaana we.
30 Era n'ayingira n'eri Laakeeri, era n'ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n'amuweerereza nate emyaka musanvu emirala.
31 Mukama n’alaaba nga Leeya yakyibwa, n'asumula olubuto lwe naye Laakeeri yali mugumba.
32 Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'ohulenzi n’amutuuma erinnya lye Lewubeni: kubanga yayogera nti Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakaao baze ananjagala.
33 N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa kyavudde ampa n'omwana ono era: n'amuruuma erinnya lye Simyoni.
34 N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu: erinnya lye kyeryava liba Leevi.
35 N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Omulundi guno naamutendereza Mukama: kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'aleekera awo okuzaala.