1 Era Yakobo n’alaba nga mu Misiri eŋŋaano mweri,Yakobo n'agamba abaana be nti Kiki ekibatunuulizaganya mwekka na mwekka?
2 N'ayogera nti Laba, mpulidde nga mu Misiri eŋŋaano mweri: muserengete, mugendeyo, mutugulire eyo; tubeere abalamu, tuleme okufa.
3 Ne baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta okugula eŋŋaano mu Misiri.
4 Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be; kubanga yayogera nti Mpozzi akabi kaleme okumubaako.
5 N'abaana ba Isiraeri ne bajja okugula mu abo abajja: kubanga enjala yali mu nsi ya Kanani.
6 Era Yusufu ye yali omukulu w'ensi; oyo ye yaguzanga abantu bonna ab'omu nsi: baganda ba Yusufu ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi.
7 Yusufu n'alaba baganda be, n'abekkaanya, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gye bali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'abagamba nti Muva wa? Ne boogera nti Mu nsi ya Kanani okugula emmere.
8 Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamwekkaanya.
9 Yusufu n'ajjukira ebirooto bye yaloota ku bo, n'abagamba nti Muli bakessi; muzze okulaba ensi bw'eteriimu.
10 Ne bamugamba nti Nedda, mukama wange, naye abaddu bo bazze okugula emmere.
11 Fenna tuli baana b'omu; tuli ba mazima, abaddu bo si bakessi n'akatono.
12 N'abagamba nti Nedda, naye muzze okulaba ensi bw'eteriimu.
13 Ne boogera nti Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana b'omu mu nsi ya Kanani; era, laba, omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero, n'omu taliiwo.
14 Yusufu n'abagamba nti Kye kiikyo kye mbagambye nti Muli bakessi:
15 bwe mulikemebwa bwe muti: ndayidde obulamu bwa Falaawo, temugenda kuva wano, wabula omwana wa bommwe ng'azze wano.
16 Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe, nammwe mmunaasibibwa, ebigambo byammwe bikemebwe, oba nga amazima mwegali mu mmwe: oba bwe mutaakole bwe mutyo, ndayidde obulamu bwa Falaawo, mazima muli bakessi.
17 N'abateeka bonna wamu mu kkomera ennaku ssatu.
18 Yusufu n'abagamba ku lunaku olw'okusatu nti Mukole bwe muti, mubeere abalamu; kubanga ntya Katonda:
19 oba nga muli ba mazima, omu ku baganda bammwe asibibwe mu nnyumba ey'ekkomera lyammwe; naye mmwe mugende, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe;
20 era mundeetere omwana wa bommwe; ebigambo byammwe bwe biritegeezebwa nga bya mazima bwe bityo, nammwe temulifa. Ne bakola bwe batyo.
21 Ne bagambagana nti Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku zino kye zivudde zitutuukako.
22 Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti Saababuulira nti Temusobya ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa.
23 Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omutegeeza . yabanga wakati we nabo.
24 N'abakuba enkoona, n'akaaba amaziga; n'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe.
25 Awo Yusufu n'alagira okujjuza ebintu byabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo: ne babakolera bwe batyo.
26 Ne bateeka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda ne bavaayo.
27 Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye; era, laba, yali mu kamwa k'ensawo ye.
28 N'agamba baganda be nti Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange; omwoyo gwabwe ne gubatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti Kino kiki Katonda ky'atukoze?
29 Ne bajjira Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani, ne bamubuulira byonna ebyababaako; nga boogera nti
30 Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza ng'abakessi b'ensi.
31 Ne tumugamba nti Tuli ba mazima; tetuli bakessi:
32 tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe; omu taliiwo, n'omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero mu nsi ya Kanani.
33 Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti Bwe nti bwe nditegeera nga muli basajja ba mazima: muleke wamu nange omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe, mwegendere:
34 mundeetere omwana wa bommwe: awo nnaategeera nga temuli bakessi n'akatono; naye nga muli basajja ba mazima: bwe ntyo ndibawa muganda wammwe, nammwe munaagulanga mu nsi.
35 Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, laba, omutwalo gw'effeeza ogwa buli muntu gwali mu nsawo ye: bo ne kitaabwe bwe baalaba emitwalo gyabwe egy'effeeza, ne batya.
36 Yakobo kitaabwe n'abagamba nti Nze munziyeeko abaana bange: Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, era mwagala okunziyaako ne Benyamini: ebyo byonna binzitoowerera.
37 Lewubeeni n'agamba kitaawe nti Obattanga batabani bange bombi, bwe sirimukomyawo gy'oli: mumpe mu mukono gwange, nange ndimukomyawo gy'oli nate.
38 N'ayogera nti Omwana wange taliserengeta nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka: akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala.