Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Olubereberye Genesis

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50
1 N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?
2 Omukazi n'agamba omusota nti Ebibala by'emiti egy'omu lusuku tutya;
3 Wabula ebibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Te mugulyangako newakubadde okugu kwatangako muleme okufa.
4 Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa:
5 Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lw muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyang obulungi n'obubi.
6 Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusaayusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebw, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya.
7 Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera ebyokwambala.
8 Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseen eky'empewo: omusajja ne mukaz we ne beekweka mu maaso ga, Mukama Katonda wakati mu mit egy'omu lusuku.
9 Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba: nti Oli luuyi wa?
10 N'ayogera nti, Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n'entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.
11 N'ayogera ati Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku mut gwe nnakulagira obutagulyangako'
12 Omusajja n'ayogera nti Omu kazi, gwe wampa okubeeranga nange ye ampadde ku muti, ne ndya
13 Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze: Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne adya.
14 Mukama Katonda n'agamba omusota nti, Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyauga enfuufu ennaku zonoa ez'obulamu bwo:
15 nange obulabe n'abuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro
16
16 N'agamba omukazi nti Okwongera naakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga.
17 N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe naakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya enaaku zonna ez'obulamu bwo;
18 amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro.
19 Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere,-okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.
20 Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
21 Mukama Katonda n'akolera Adamu ae mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
22 Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe;
23 Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa.
24 Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]