1 Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga:
2 nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe:
3 nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.
4 Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani.
5 Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuaŋŋaanyizza; n'abantu be baafuniramu Kalaani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani.
6 Ibulaamu n'ayita mu nsi n'atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanaani yali mu nsi mu biro ebyo.
7 Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama eyamulabikira.
8 N'avaayo n'agenda awali olusozi ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akaabira erinnya lya Mukama.
9 Ibulaamu n'atambula, ng'akyakwata ekkubo ery'obukiika obwa ddyo.
10 Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi.
11 Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti Laba, mmanyi nga gw'oli mukazi mulungi okutunuulira:
12 kale, Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti Oyo ye mukazi we: era balinzita, nze, naye ggwe balikuwonya mulamu.
13 Oyogeranga, nkwegayiridde, nga gw'oli mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n'obulamu bwange buwone ku lulwo.
14 Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nayo.
15 N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo.
16 N'akola bulungi Ibulaamu ku bubwe: n'aba n'endiga, n'ente, n'endogoyi ensajja, n'abaddu, n'abazaana, n'endogoyi enkazi, n'eŋŋamira.
17 Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi, wa Ibulaamu.
18 Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo?
19 Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze, nange n'okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo, omutwale, weegendere:
20 Falaawo n'amulagiririza abasajja: ne bamuwerekerako ye ne mukazi we nce byonna bye yalina.