1 Yakobo ne yeegendera, ne bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
2 Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti Lino lye ggye lya Katonda: n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu.
3 Yakobo n'atuma ababaka okumukulembera eri Esawu muganda! we mu nsi ya Seyiri, ye nnimiro ya Edomu.
4 N'abalagira ng'ayogera nti Bwe muti bwe muligamba mukama wange Esawu; nti Bw'ati bw'ayogera omuddu wo Yakobo nti Natuulanga ne Labbaani, ne mbeerayo okutuusa kaakano:
5 era nnina ente n'endogoyi, n'ebisibo, n'abaddu n'abazaana: era ntumye okubuulira mukama wange, ndabe ekisa mu maaso go.
6 Ababaka ne bakomawo eri Yakobo nga boogera nti Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, n'abasajja bina wamu naye.
7 Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira: n'ayawulamu abantu abaali naye, n'ebisibo, n'ente, n'eŋŋamira, okuba ebibiina bibiri;
8 n'ayogera nti Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.
9 Yakobo n'ayogera nti Ai Katonda wa jjajja wange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ai Mukama, eyaŋŋamba nti Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange naakukolanga bulungi:
10 sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n'amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo; kubanga nawunguka Yoludaani guno nga nnina muggo gwokka; ne kaakano nfuuse ebibiina bibiri.
11 Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n'abaana baabwe.
12 Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola buluagi, era naafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.
13 N'asula awo ekiro ekyo: n'atoola ku ebyo bye yali aabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we;
14 embuzi enkazi bibiri n'enaume abiri; endiga enkazi bibiri n'ennume abiri;
15 eŋŋamira eziramulwa asatu n'abaana baazo; ente enkazi ana n'eza seddume kkumi, endogoyi enkazi abiri n'abaana baazo kkumi.
16 N'abiwa mu mukono gw'abbadu be, buli kisibo kyokka; n'agamba abaddu be nti Munkulembere musomoke, musseewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.
17 N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti Oli w'ani? era ogenda wa? n'ebyo ebiri mu maaso go by'ani?
18 n'olyoka ogamba nti Bya muddu wo Yakobo; kye kirabo ekiweerezebbwa mukama wange Esawu; era, laba, naye ali nnyuma waffe.
19 Era n'alagira n'ow'okubiri n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamulaba.
20 Era munaayogera nti Era, laba, omuddu wo Yakobo ali nnyuma waffe: Kubaaga yayogera nti Naamuwooyawooya n'ekirabo ekinankulembera ne ndyoka mmulaba amaaso ge; mpozzi anannyaniriza.
21 Awo ekirabo ne kimukulembera ne kisomoka: naye ye yennyini n'asula ekiro ekyo wamu n'ekibiina.
22 N'agolokoka ekiro ekyo, n’addira bakazi be bombi, n'abazanra be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomokera mu musomoko gw'e Yaboki.
23 N'abatwala, n'abasomosa omugga, n'asomosa byonna bye yalina.
24 Yakobo n'asigalayo yekka; omusajja n'ameggana naye okutuusa emambya bwe yasala.
25 Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya Yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye.
26 N'ayogera nti Nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera atil Sijja kukuta, wabula ag'ompadde omukisa.
27 N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? N'ayogera nti Yakobo.
28 N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n’abantu, era osinze.
29 Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo. N'ayogera nti Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa.
30 Yakobo n'atuuma ekifo erianya lyakyo Penieri: kubanga ndabagaaye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwaage buwonye.
31 Enjuba n'evaayo n'emwakako ng'awuunuka Penueri, n'awenyera olw'ekisambi kye:
32 Abaana ba Isiraeri kyebava balema okulya ekinywa ky'ekisambi ekiri ku mbalakaso, okutuusa leero: kubanga yakoma ku mbalakaso ya Yakobo mu kinywa ky'ekisambi.