1 Enjala n'eba nnyingi mu nsi.
2 Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'abagamba nti Mugende nate, mutugulire akamere.
3 Yuda n'amugamba nti Omusajja yatulayiririra ddala ng'ayogera nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe.
4 Bw'onoosindika muganda waffe awamu naffe, tunaaserengeta tulikugulira emmere:
5 naye bw'otoomusindike, tetugenda kuserengeta: kubanga omusajja yatugamba nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe.
6 Isiraeri n'ayogera nti Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nga mulina ow'oluganda omulala?
7 Ne boogera nti Omusajja yatubuuza bubuuza bwe twali ne baganda baffe bwe baali, ng'ayogera nti Kitammwe akyali mulamu? mulina ow'oluganda omulala? ne ttunubuulira ng'ebigambo ebyo bwe biri: twandiyinzizza n'akatono okutegeera ng'anaagamba nti Muserengese muganda wammwe?
8 Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti Sindika omulenzi awamu nange, naffe tunaagolokoka ne tugenda; tube abalamu, tuleme okufa, ffe; naawe, era n'abaana baffe abato.
9 Nze naabeera omuyima we; olimuvunaana nze mu mukono gwange: bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna:
10 kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogw'okubiri.
11 Kitaabwe Isiraeri n'abagamba nti Oba nga kaakano kiri bwe kityo, mukole bwe muti; mutwale ku bibala eby'omu nsi ebisinga obuhmgi mu bintu byammwe, mutwalire omusajja ekirabo, enwmbo si nnyingi, n'omubisi gw'enjuki, omugaw n'obubaane, ebinywebwa n'endoozi:
12 era mutwale effeeza ebigero bibiri mu ngalo zammwe; n'effeeza eyakomezebwawo mu bumwa bw'ensawo zammwe gitwale nate mu ngalo zammwe; mpozzi baagizza nga tebamanyiridde:
13 era mutwale ne muganda wammwe, mugolokoke, muddeyo eri omusajja:
14 era Katonda omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja abasumulurire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.
15 Abasajja ne batwala ekirabo ekyo, ne batwala effeeza ebigero bibiri mu ngalo zaabwe, ne Benyamini; ne bagolokoka, ne baserengeta mu Misiri, ne bayimirira mu maaso ga Yusufu.
16 Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti Twala abasajja mu nnyumba, obabaagire, oteeketeeke; kubanga abasajja banaaliira wamu nange mu ttuntu.
17 Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yalagira; omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu.
18 Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; atulabireko ensonga, atuwamatukireko, atunyage okuba abaddu, n'endogoyi zaffe.
19 Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye ku mulyango gw'ennyumba,
20 ne bagamba nti Ai mukama wange, mazima twaserengeta olubereberye okugula emmere:
21 awo olwatuuka, bwe twatuuka mu kifo ekyokusulamu, ne tusumulula ensawo zaffe, era, laba, effeeza ya buli muntu yali mu kamwa k'ensawo ye, effeeza yaffe ekigero kyayo kituufu: era tugikomezzaawo mu ngalo zaffe.
22 Era tuleese n'effeeza endala mu ngalo zaffe okugula emmere: tetumanyi bw'ali eyateeka effeeza yaffe mu nsawo zaffe.
23 N'ayogera nti Emirembe gibe gye muli, temutya: Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe: nnaweebwa effeeza yammwe. N'abafulumiza Simyoni.
24 Omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere byabwe; n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya.
25 Ne bateekateeka ekirabo Yusufu ng'ajja kujja mu, ttutttu: kubanga bawulidde nga banaaliira eyo emmere.
26 Awo, Yusufu bwe yadda eka, ne bamuleetera mu nnyumba ekirabo ekyali mu ngalo zaabwe, ne bamuvuunamira.
27 N'ababuuza bwe baali, n'ayogera nti Kitammwe gyali omukadde gwe mwayogerako? Akyali mulamu?
28 Ne boogera nti Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu. Ne bakutama, ne bavuunama.
29 N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti Oyo ye mwana wa bommwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange.
30 Yusufu n'ayanguwa; kubanga emmeeme ye yalumirwa muganda we: n'anoonya w'anaakaabira amaziga; n'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.
31 N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'ayogera nti Mujjule emmere.
32 Ne bamusoosootolera ye yekka, nabo bokka, n'Abamisiri, abaaliiranga awamu naye, nabo bokka: kubanga Abamisiri tebayinza kuliira mmere wamu n'Abaebbulaniya; kubanga ekyo kya muzizo eri Abamisiri.
33 Ne batuula mu maaso ge, omubereberye ng'obukulu bwe bwe bwali, n'omuto ng'obuto bwe bwe bwali: abasajja ne beewuunya bokka na bokka.
34 N'ababegerako ebitole (ku mmere) eyali mu maaso ge: naye ekitole kya Benyamini kyasinga ebyabwe byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu naye.