1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka w'e Misiri.
2 Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro.
3 n'abasiba mu nnynunba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa.
4 Omukulu w'abambowa n'a bateresa Yusufu, n'abaweereza: ne bamalayo ekiseera nga basibiddwa.
5 Ne baloota ekirooto bombi, buli muntu ekirooto kye mu kiro kimu, buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, abaasibibwa mu kkomera.
6 Yusufu n'ayingira gye baali enkya, n'abalaba, era, laba, baali banakuwadde.
7 N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, ng'ayogera nti Kiki ekinakuwazizza bwe kityo amaaso gammwe leero?
8 Ne bamugamba nti Tuloose ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo. Yusufu n'abagamba nti Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? mukimbuulire, mbeegayiridde.
9 Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange;
10 ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu: ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu:
11 n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.
12 Yusufu n'amugamba nti Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu;
13 walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo n'akukomyawo mu bwami bwo: era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, ng'empisa bwe yali edda bwe wali omusenero we.
14 Naye onjijukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onziye mu nnyumba muno:
15 kubanga amazima nanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya: era ne kuno sikolanga kigambo ekyandibanteesezza mu kkomera.
16 Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu ati Nange mbadde mu kirooto kyange, era, laba, ebibbo ebisatu ebibaddemu emmere enjeru ne ba ku mutwe gwange:
17 ne mu kibbo ekya waggulu mubaddemu engeri zonna ez’emmere enjokye eza Falaawo; ennyonyi ne ziziriira mu kibbo ku mutwe gwange.
18 Yusufu n'addamu n'ayogera nti Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu;
19 walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo okuva ku ggwe, era alikuwanika ltu mhti; n'ennyonyi zirirya ennyama yo okugiggya ku ggwe.
20 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonaa embaga; n'agulumiza omutwe gw'omusenero omukulu n'omutwe gw'omufumbiro omukulu mu baddu be.
21 N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo:
22 naye n'awanika omufumbiro omukulu: nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu.
23 Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira.