1 Mukama n'amulabikira awali emivule gya Mamule, bwe yali ng'atudde mu mulyango mu ttuntu;
2 n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge: awo bwe yabalaba, n'ava mu mulyango gw'eweema n'adduka mbiro okubasisinkana, n'avuunama,
3 n'ayogera nti Mukama wange, oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, tova wali muddu wo, nkwegayiridde:
4 kale nno baleete otuzzi, munaabe ebigere, muwummulire wansi w'omuti:
5 nange naaleeta akamere, musanyuke emitima gyammwe; ne mulyoka mugenda: kubanga mutuuse eri omuddu wammwe. Ne boogera nti Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde.
6 Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta, obugoye, ofumbe emmere.
7 Ibulayimu n'adduka mbiro eri ekisibo, n'akima ennyana ennonvu ennungi, n'agiwa omuddu; n'ayanguwa okugifumba.
8 N'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.
9 Ne bamugamba nti Ali ludda wa Saala mukazi wo? N'ayogera nti Laba, ali mu weema.
10 N'ayogera nti Sirirema kukomawo w'oli ekiseera bwe kiridda; era, laba, Saala mukazi wo alizaala omwana ow'obulenzi. Saala n'awulira mu mulyango gw'eweema, eyali ennyuma we.
11 Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye, era nga bayitiridde obukadde; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eri.
12 Saala n'aseka munda ye, ag'ayogera nti Nga mmaze okukaddiwa ndisanyuka, era ne mukama wange ng'akaddiye?
13 Mukama n'agamba Ibulayimu nti Kiki ekimusesezza Saala, ng'ayogera nti Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye?
14 Waliwo ekirema Mukama? Mubiro ebyateekebwawo ndikomawo w'oli, ekiseera bwe kiridda, ne Saala alizaala omwana ow'obulenzi.
15 Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti Sisese: kubanga yatya: N'ayogera nti Nedda; naye okuseka osese.
16 Abasajja ne bagolokoka okuva eyo, ne batunuulira e Sodoma: Ibulayimu n'agenda nabo okubawerekerako.
17 Mukama n'ayogera nti Ibulayimu naamukisa kye nkola
18 kubanga Ibulayimu talirema kufuuka ggwanga ddene ery'amaanyi, era amawanga gonna ag'omu nsi galiweerwa omukisa mu ye.
19 Kubanga kyennava mmumanya, alyoke abalagire abaana be n'ennyumba ye eriddawo, okukwatanga ekkubo lya Mukama, okukolanga eby'obutuukirivu n'eby'ensonga; Mukama alyoke aleete ku Ibulayimu bye yamwogerako.
20 Mukama n'ayogera nti Kubanga okukaaba okw'e Sodoma ne Ggomola kunene, era kubanga okwonoona kwabwe kwa kitalo:
21 nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng'okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze; era obanga tekyali bwe kityo, naamanya.
22 Abasajja ne bava eyo, ne bagenda e Sodoma: naye Ibulayimu ng'akyayimiridde mu maaso ga Mukama.
23 Ibulayimu n'asembera, n'ayogera nti Olizikiriza abatuukitivu awamu n'ababi?
24 Mpozzi mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano: olizikiriza ekifo n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu ataano abakirimu?
25 Kitalo okole bw'otyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi, n'okwenkana abatuukirivu ne benkana n'ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?
26 Mukama n'ayogera nti Bwe nnaalaba mu Sodoma abatuukirivu ataano munda mu kibuga, ne ndyoka nsonyiwa ekifo kyonna ku bwabwe.
27 Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama newakubadde nga ndi nfuufu bu fuufu n'evvu:
28 mpozzi ku batuukirivu ataano kunaabulako abataano: olizikiriza ekibuga kyonna kubanga abataano babulako? N'ayogera nti Sirikizikiriza bwe nnaalabayo ana mu abataano.
29 N'ayogera naye nate era nti Mpozzi munaalabikamu ana. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo ku bw'ana.
30 N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange kanjogere: mpozzi munaalabikamu asatu. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo, bwe nnaalabayo asatu.
31 N'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama: mpozzi munaalabikamu abiri. N'ayogera nti Sirikizikiriza, ku bw'abiri abo.
32 N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange ka njogere nate omulundi guno ogumu gwokka : mpozzi munaalabikamu ekkumi. N'ayogera nti Sirikizikiriza ku bw'ekkumi abo.
33 Mukama ne yeegendera, bwe yamala okwogera ne Ibulayimu: Ibulayimu n'addayo mu kifo kye.