Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Olubereberye Genesis

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50
1 Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama.
2 Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka.
3 Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta cbibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda.
4 Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga zeababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo:
5 Naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka.
6 Mukama n'agamba Kayini, nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go?
7 Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoo mufuganga.
8 Kayini n'ayogera ne Abiri mugaana we. Awo bwe baali nga bali mu animiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta.
9 Mukama n'agamba Kayini nti, Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange?
10 N'ayogera nti Okoze ki? Eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi.
11 Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo;
12 bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze.
13 Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange, tekuyinzika kugumiikirizibwa.
14 Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era naabanga momboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita.
15 Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta.
16 Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni.
17 Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'eri nnya ly'omwana we.
18 Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri:
19 Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira
20 Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda.
21 N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere.
22 Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama.
23 Lameka n'agamba bakazi be nti Ada ne Zira, muwulire eddoboozilyange: Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange: Kubanga natta omusajja ku' banga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze:
24 Ohanga Kayini aliwalaturwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka walanirwa emirundi mu musanvu.
25 Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta.
26 Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erianya lya Mukama.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]