1 Yusufu n'agwa ku maaso ga kitaawe, n'amukaabirako, n'amunywegera:
2 Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe: abasawo ne bakalirira Isiraeri.
3 Ne bamala ennaku ana nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwe zenkana okuzimala: Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bakumye olumbe ku bubwe.
4 Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti
5 Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo.
6 Falaawo n'ayogera nti Yambuka oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.
7 Yusufu n'ayambuka okuziika kitaawe: ne wagenda naye abaddu bonna aba Falaawo, abakadde ab'ennyumba ye n'abakadde bonna ab'ensi y'e Misiri,
8 n'ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be n'ennyumba ya kitaawe: abaana baabwe abato, n'endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu nsi y'e Goseni.
9 Ne wayambuka naye amagaali era n'abeebagadde ku mbalaasi: ne kiba ekibiina ekinene ennyo.
10 Ne batuuka ku gguliro lya Atadi, eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi binene nayo: n'amala eanaku musanvu, ng'akaabira kitaawe.
11 N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12 Abaana be ne bamukolera nga bwe yabalagira:
13 bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu asi ya Kanani, ae bamuziika mu mpuku ey'omu tmimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule.
14 Yusufu n'addayo mu Misiri ye ne baganda be ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe, bwe yamala okuziika kitaawe.
15 Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe yafa, ne boogera nti Mpozzi Yusufu agenda okutukyawa, n'okutuwalanirako ddala obubi bwonna bwe twamukola.
16 Ne batumira Yusufu nga boogera nti Kitaatvo yalagira bwe yali nga tannafa ng'ayogera nti
17 Bwe mutyo bwe muligamba Yusufu nti Nkwegayiridde kaakano, sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi: ne kaakano, tukwegayiridde, sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo. Yusufu n'akaaba amaziga bwe baayogera naye.
18 Ne baganda be n'okugenda ne bagenda ne bavuunama mu maaso ge; ne boogera nti Laba, tuli baddu bo.
19 Yusufu n'abagamba nti Temutya: nze ndi mu kifo kya Katonda?
20 Nammwe, mwali mwagala okundeetako ebibi; naye Katonda yali ayagala okundeetako 'ebirungi, nga era bwe kibadde, okuwonya abantu abangi baleme okufa.
21 Kale kaakano temutya: nnaabaliisanga mmwe n'abaana bammwe abato. Naaabasanyusa, nnaabagamba eby'ekisa.
22 Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe: Yusufu n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi.
23 Yusufu n’alaba abaana ba Efulayimu bannakabirye: era n'abaana ba Makiri omwana wa Manase baazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
24 Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
25 Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno.
26 Bw'atyo Yusufu n'afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi: ae bamukalirira; ne bamuteeka mu ssanduuko ey'okuziikamu mu Misiri.