1 Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula mu mukono gw'Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo.
2 Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.
3 Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa buli kye yakola okuba n'omukisa mu mukono gwe.
4 AYusufu n'alaba ekisa mu maaso ge, n'amuweereza: n'amufuula omulabirizi w'ennyumba ye, ne bye yali nabyo byonna n'abiteeka mu mukono gwe.
5 Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byotma bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa ennyumba ey'Omumisiri omukisa ku bwa Yusufu: omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye ya lina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.
6 N'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya kintu ekyali naye wabula emmere gye yalyanga. Era Yusufu yali mulungi, n'amaaso ge ga kusanyusa.
7 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n’atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange.
8 Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange;
9 tewali ansinga nze obukulu mu anyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale anyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?
10 Awo olwatuuka bwe yayogera ne Yusufu buli lunaku, n'atamuwuliranga, okusula naye, oba kubeera naye.
11 Awo olwatuuka mu biro ebyo n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; so nga siwali basajja ba mu nnyumba muli munda.
12 N'amukwatako ekyambalo kye ng'ayogera ati Sula nange: n'aleka ekyambalo kye mu mukono gwe. n'adduka, n'avaayo.
13 Awo olwatuuka, bwe yalaba ng'alese ekyambalo kye mu mukono gwe n'adduka n'avaayo,
14 n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti Laba, yayingiza Omwebbulaniya okutuduulira; ayingidde gye ndi okusula nange, ne nkoowoola n'eddoboozi ddene:
15 awo olwaruuse, bw'swulidde nga nnyimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi n'adduka n'avaayo.
16 N'atereka ekyambalo kye ewuwe, okutuusa mukama we bwe yakomawo eka.
17 N'amugamba ng'ebigambo bino bwe biri nti Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera yayingira gye ndi okunduulira:
18 awo olwatuuka, bwe nnayimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'avaayo.
19 Awo olwatuuka, mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba nti Bw'atyo omuddu wo bwe yankolera; obusungu bwe ne bubuubuuka.
20 Mukama wa Yusufu n'amutwala, n’amussa mu kkomera, ekifo abasibe ba kabaka mwe baasibirwa: n'abeera omwo mu kkomera.
21 Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n’amulaga ebirungi, n'amuwa ekisa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera.
22 Omukuumi w'ekkomera n'ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo, oyo ye yabikola.
23 Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n'ebyo bye yakola, Mukama n'abiwa omukisa.