1 Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atamuzaalira baana: era yalina omuzaana, Omumisiri, erinnya lye Agali.
2 Salaayi n'agamba Ibulaamu : nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi.
3 Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we.
4 N'ayingira eri Agali, naye n'aba olubuto: awo bwe yalaba ng'ali lubuto, mugole we n'anyoomebwa mu maaso ge.
5 Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Okwonoona kwange kube ku ggwe: nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo; kale bwe yalaba ng'ali lubuto, ne nnyoomebwa mu maaso ge: Mukama atusalire omusango nze naawe.
6 Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti Laba, omuzaana wo ali mu mukono gwo; mukolere ekifaanana ekirungi mu maaso go. Salaayi, n'amujoganga, n'adduka mu maaso ge.
7 Ne malayika wa Mukama n'amulabira awali oluzzi olw'amazzi mu ddungu, oluzzi oluli mu kkubo ng'ogenda e Ssuuli.
8 N'ayogera nti Agali, muzaana wa Salaayi, ova wa? era ogenda wa? Naye n'ayogera nti Nziruka mu maaso ga mugole wange Salaayi.
9 Ne malayika wa Mukama n'amugamba nti Ddayo eri mugole wo, ogonde wansi w'emikono gye.
10 Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Ndyongera nnyo ezzadde lyo, n'okubala ne litabalika olw'obungi.
11 Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Laba, oli lubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyabonyezebwa kwo.
12 Era aliba ng'entulege mu bantu; omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna.
13 N'ayita erinnya lya Mukama eyayogera naye, ati Ggwe Katonda alaba: kubanga yayogera nti N'okutunula ntunuu lidde oyo andaba?
14 Oluzzi kyerwava luyitibwa Beerirakairo: laba, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15 Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana we, Agali gwe yazaala, erinnya lye Isimaeri.
16 Ibulaamu yali yaakamaze emyaka kinaana mu mukaaga, Agali bwe yazaalira Ibulaamu Isimaeri.