Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Omugugu gwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba.
2 Muwanike ebendera ku lusozi olw'obweru, mubayimusize eddoboozi, muwenye n'omukono, bayingire mu miryango egy'abakungu.
3 Ndagidde abawonge bange, weewaawo, mpise abasajja bange ab'a maanyi olw'obusungu bwange, aba nge abeenyumiriza n'amalala.
4 Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi ng'olweggwanga eddene! oluyoogaano olw'okuleekaana kw'obwaka baka obw'amawanga nga gakuŋŋaanye! Mukama ow'eggye akuŋŋaanyizza eggye olw'olutalo.
5 Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'e ggulu, Mukama n'ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe, okuzikiriza ensi yonna.
6 Muwowoggane; kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omu yinza w'ebintu byonna.
7 Emikono gyonna kyegiriva giddirira na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka:
8 era balikeŋŋentererwa okusonsomolwa n'okubalagalwa ku libakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: baliwuniikirira bokka na bokka; amaaso gaabwe galiba maaso ga muliro.
9 Laba olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n'ekiruyi; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.
10 Kubanga emmunyeenye ez'omi ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi tegulyaka mu sana gwagwo.
11 Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwabwe n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejc eky'abalina amalala, era ndikkakka nya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.
12 Ndifuula omusajja okuba ow'o muwendo okusinga ezaabu ennungi omusajja okusinga ezaabu ennung eya Ofiri.
13 Kyendiva nkankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eggye, ne ku lunala olw'ekiruyi kye.
14 Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa era ng'endiga ezitaliiko musumba, balikyuka buli muntu okudda mu bann b'ewaabwe ye, era balidduka buli muntu mu nsi yaabwe ye.
15 Buli anaalabikanga anaafumitibwanga; na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala.
16 N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mi. maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zirinyagibwa, n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi:
17 Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaaro mwoyo eri effeeza, n'ezaabu ebaligisanyukira.
18 N'emitego gyabwe girimenyaamenya abavubuma so tebalisaasira zzadde lya lubuto; eriiso lyabwe teririsonyiwa baana bato.
19 Ne Babulooni, ekiiibwa eky'obwakabaka, obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiriba iga Katonda bwe yasuula Sodomu ie Ggomola.
20 Tekiisulibwengamu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbegayo weema; so n'abasumba tebaagalamizengayo nbuzi zaabwe.
21 Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaame zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebya zigeye binaaziniranga eyo.
22 N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ebinyumu: n'ekiseera yakyo kiri kumpi n'okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]