1 Mu mwaka Talutani mwe yajjira e Asudodi, Salugoni kabaka w'e Bwasuli bwe yamugaba, n'alwana ne Asudodi n'akimenya;
2 mu biro ebyo Mukama n'ayogerera mu Isaaya mutabani wa Amozi, nti Genda osumulule ekibukutu mu kiwato kyo era onaanule engatto yo mu kigere kyo. N'akola bw'atyo ng'atambula bwereere nga talina na ngatto.
3 Mukama n'ayogera nti Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambulira emyaka esatu obwereere nga talina na ngatto okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;
4 bw'atyo kabaka w'e Bwasuli bw'alitwalira ddala abasibe ab'e Misiri, n'abo abagobebwa ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amatako gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi.
5 Era balikennentererwa balikwatibwa ensonyi, olwa Kuusi essuubi lyabwe, n'olwa Misiri ekitiibwa kyabwe.
6 N'oyo atuula ku ttale lino ery'ennyanja alyogerera ku lunaku luli nti Laba, bwe lifaanana bwe lityo essuubi lyaffe, gye twaddukira okubeerwa okulokoka eri kabaka w’e Bwasuli: naffe tuli wona tutya ffe?