Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mukwatenga eby'ensonga, mukolenga eby'obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera kujja, n'obutuukirivu bwange buaatera okubikkulibwa.
2 Alina mukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.
3 So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n'abantu be: so n'omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu.
4 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama w'abalaawe abakwata ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange.
5 nti Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba ne munda w'ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
6 Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
7 abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
8 Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.
9 Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira.
10 Abakuumi be bazibe be maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baa gala okubongoota.
11 Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkulzo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
12 Boogera nti Mujje, naakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanikika.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]