Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okiubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera;
2 Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde;
3 okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa, ye.
4 Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi.
5 Era bannaggwanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe, n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalo ngooserezanga emizabbibu.
6 Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama: abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe: mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza.
7 Mu kifo ky'ensonyi zammwe muliweebwa emirundi ebiri; ne mu kifo ky'okuswala balisanyukira omugabo gwabwe: kyebaliva babeera n'emirundi ebiri mu nsi yaabwe: baliba n'essanyu eritaliggwaawo.
8 Kubanga nze Mukama njagala omusango ogw'ensonga, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo.
9 N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu: bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa.
10 Naasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'ebyobuyonjo bwe.
11 Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]