1 Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luji, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.
2 Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi.
3 Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n'oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi:
4 Mukama bw'aliba ng'anaalizza ddala empitambi y'abawala ba Sayuuni, era ng'amazeemu omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo, olw'omwoyo ogw'omusango, era olw'omwoyo ogw'okwokya.
5 Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako.
6 Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa.