Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Serengeta otuule mu nfuufu ggwe omuwala wa Babulooni atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi.
2 Ddira emmengo osi obutta: bikkula ku maaso, ggyako ekirenge, bikkula ku kugulu, oyite mu migga.
3 Obwereere bwo buli bikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika: ndiwalana eggwanga so sirikkiriza muntu yenna.
4 Omununuzi waffe, Mukama ow'egge lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri.
5 Tuula ng'osirise, weegendere mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakya kuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka.
6 Nasunguwalira abantu bange, navumisa abusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo: tewabasaasira n'akamu; ku bakadde obataddeko ekikoligo kyo kizito nnyo.
7 N'oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n'otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma.
8 Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng'osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana:
9 naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde ohungi.
10 Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza: n'oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze.
11 Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n'akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n'okuzika kulikujjako mangu ago kw'otomanyiridde.
12 Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola.
13 Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza: abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako.
14 Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro: teguliba yanda lya kwota, newakubadde kyoto eky'okutuulako.
15 Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]