Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba kifunvu eky'ebyagwa.
2 Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo: biriba bya mbuzi, ezunaagalamiranga so tewaabenga anaaziikanga.
3 Era ekigo kirikoma mu Efulayimu, n'obwakabaka mu Ddamasiko, n'abalifikkawo ku Busuuli; baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
4 Awo olulituuka ku lunaku luli ekitiibwa kya Yakobo kirikendee zebwa, n'obugewu bw'omubiri gw bulikogga.
5 Era kiriba ng'omu kunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋaano emera n'omukono gwe ne gukungula ebirimba; weewaawo, kiriba ng'o muntu bw'alonda ebirimba mi kiwonvu kya Lefayimu.
6 Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, ebina oba bitaano ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri
7 Ku lunaku luli omuntu alitunuulira Omutonzi we, n’amaaso go galikyukira Omutukuvu owa Isiraeri.
8 So talitunuulira byoto, omulim gw'emikono gye, so talikyukira ekyo engalo ze kye zaakola, oba Baasera oba ebifaananyi by'enjuba.
9 Ku lunaku luli ebibuga bye eby'amaanyi biriba ng'ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y'olusozi, ebyaviibwamu mu maaso g'abaana ba Isiraeri era biriba nsiko.
10 Kubanga weerabidde Katonda ow'obulokozi bwo so tojjukidde lwazi lwa maanyi ge kyova, osimbamu ebisimbe eby'oki sanyusa, n'osigamu ebimera ebigenyi:
11 ku lunaku lw'osimbirako ossaako olukomera, era enkya omerusa ensigo zo: naye ebikungulwa biddukira ku lunaku olw'okunakuwaliramu era olw'okukungubagiramu.
12 Woowe, oluyoogaano lw'amawanga amangi, agawuluguma ng'okuwuluguma kw'ennyanja; n'okuwulukuka kw'amawanga agawuluku ng'okuwulukuka kw'amazzi ag’amaanyi!
13 Amawanga galiwulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi naye alibanenya, nabo baddukira wala, era baligobebwa ng'ebisusunku eby'oku nsozi mu maaso g'empewo, era ng'enfuufu ey'akazimu mu mberi ya kibuyaga.
14 Akawungeezi, laba, ntiisa; obudde nga tebunnakya tebalih Guno gwe mugabo gw'abo abatunyaga, era ye mpeera y'abo abatukwakwabira.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]