1 Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'obunnya bw'obuya bwe mwasimibwamu.
2 Tunuulira Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala: kubanga bwe yali ali omu yekka ne tumuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabika omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba.
4 Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange: kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, era ndibeesaawo omusango gwange okuba omusana eri amawanga.
5 Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango; ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga.
6 Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi: kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo: naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe.
8 Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng'ekyambalo, n'enkuyege eribalya ng'ebyoya by'endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.
9 Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi, ggwe omukono gwa Mukama; zuukuka nga mu nnaku ez'edda, mu mirembe egy'ebiro eby'edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu, eyafumita ogusota?
10 Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusemokeramu?
11 N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuumi n'okuyimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala.
12 Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa: ggwe anni n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo;
13 ne weerabira Mukama Omukozi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?
14 Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n'akka mu bunnya, so n'emmere ye teribula.
15 Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma: Mukama ow'eggye lye linnya lye.
16 Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne rJtlamba Sayuuni nti Ggwe bantu bange.
17 Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obukaali bwe; wanywa ku kibya eky'ekikompe eky'okutagatta n'okikutankira.
18 Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna beyalera.
19 Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; n'akusanyusa ntya?
20 Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; bajjudde obukaali bwa Mukama, okunenya kwa Katonda wo.
21 Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, era atamidde naye si na mweage:
22 bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kibya eky'ekikompe eky'obukaali bwange; tokyakinywangako lwa kubiri:
23 era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti Kutama tuyiteko: naawe n'oteekawo amabegago ng'ettaka era ng'oluguudo eri abo abayitako.