1 Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka.
2 Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma.
3 Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4 Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafiunbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.
5 Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
6 Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga,
7 so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n’afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi.
8 Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu:
9 naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange.
10 Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera.
11 Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
12 Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa.