1 Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera.
2 Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire.
3 Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe.
4 Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi alutaliggwaawo.
5 Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu, ekibuga ekigulumivu: akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu.
6 Ekigere kirikirinnyirira; ebigere by'omwavu, n'ebisinde by'oyo atalina kintu.
7 Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu.
8 Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.
9 Nakwoyanga n'obulamu bwange ekiro; weewaawo, nakeeranga mu makya okukunoonya n'omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu.
10 Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.
11 Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebalaba: naye baliraba obunyiikivu bwo olw'abantu ne bakwatibwa ensonyi; weewaawo, omuliro gulyokya abalabe bo.
12 Mukama, oliragira emirembe gye tuli: kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna.
13 Ai Mukama Katonda waffe, abaami abalala awali ggwe baatufuganga; naye ggwe tunaayatulanga erinnya lyo wekka.
14 Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza oku jjukirwa kwabwe kwonna.
15 Wayaza eggwanga, ai Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez'ensi.
16 Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.
17 Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ai Mukama.
18 Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde.
19 Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku middo, n'ettaka liriwandula abafu.
20 Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okuayiiga We kuliggwaawo.
21 Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe: n'ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo; so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.