1 Awo olwatuuka ku mirernbe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka We Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa.
2 Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga boogera nti Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n'omutima gw'abantu be, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa n'empewo.
3 Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu we lukoma, mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye;
4 omugambe nti Weekuume obeerewo bubeezi; torya, so n'omutima gwo teguzirikanga olw'emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw'obusungu obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obw'omwana wa Lemaliya.
5 Kubanga Obusuuli buteesezza obubi ku ggwe, ne Efulayimu, n'omwana wa Lemaliya, nga boogera nti
6 Twambuke tulumbe Yerusaalemi, tukiteganye, twewagulire omwo ekituli, tusseewo kabaka wakati mu kyo, omwana wa Tabeeri:
7 bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Tekirinywera so tekirituukirira.
8 Kubanga omutwe gw'Obusuuli ye Ddamasiko n'omutwe gw'e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n'etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga:
9 n'omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n'omutwe gw'e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.
10 Awo Mukama n'agamba nate Akazi nti
11 Weesabire Mukama Katonda wo akabonero: kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu.
12 Naye Akazi n'ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama. Naye Akazi n'ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama.
13 N'ayogera nti Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era?
14 Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi era alituumwa erinnya lye Imanueri.
15 Omuzigo n'omubisi gw'enjuki alibirya, bw'amanya okugaana ebibi, n'okweroboza ebirungi.
16 Kubanga omwana nga tannamanya kugaana bibi n'okweroboza ebirungi, ensi gy'okyawaamu bakabaka baayo bombi erirekebwa.
17 Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w'e Bwasuli.
18 Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikoowoola ensowera eri mu bifo eby'ewala eby'emigga egy'e Misiri, n'enjuki eri mu nsi y'e Bwasuli.
19 Era birijja, era biriwummulira byonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw'omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna.
20 Ku lunaku luli Mukama alimwesa akamwano akagule akali mu bifo eby'emitala w'omugga, ye Kabaka w'e Bwasuli, omutwe n'obwoya obw'oku bigere: era kalimalawo n'ekirevu.
21 Awo olulituuka ku lunaku luli omusajja aliriisa ente eyonsa ento n'endiga bbiri;
22 Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa.
23 Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa.
24 Balijjayo nga balina obusaale n'omutego; kubanga ensi yonna eriba myeramannyo, n'amaggwa.
25 N'ensozi zonna ze baalimanga n'enkumbi, tolituukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.