Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Mukama!
2 Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku buyambi bw'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
3 Kale nno Abamisiri bantu buntu so si Katonda; n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo: era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa, kale bonna baliggweerawo wamu.
4 Kubanga bw'atyo Mukama bw'angamba nti Ng'empologoma bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo n'empologoma ento, abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, so teryetoowaza lwa kuyoogaana kwabwe: bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.
5 Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akiwonya, aliyitako n'akirokola.
6 Mukyukire oyo gwe mwajeemerera ddala, mmwe abaana ba Isiraeri.
7 Kubanga ku lunaku luli balisuulira ddala buli muntu ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi.
8 Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali kya bantu; n'ekitala ekitali kya bantu kirimulya: era alidduka ekitala, n'abawbuka be balifuuka musolo.
9 N'olwazi lwe lulivaawo olw'okwesisiwala, n'abakulu be balikeŋŋentererwa olw'ebendera, bw'ayogera Nlukama, omuliro gvre guli ku Sayuuni n'ekikoomi kye mu Yerusaalemi.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]