Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Mu biro ebyo Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka We Babulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye.
2 Kegeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'eznyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye, ne byonna ebyalabika mu bugagga bwe: tewaali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
3 Awo Isaaya nabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era baava wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ya wala okujja gye ndi, baava e Babulooni.
4 Awo n'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu bugagga bwange kye ssibalaze.
5 Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama ow'eggye,
6 Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama.
7 Ne ku batabani bo abaliva mu ggwe b'olizaala balibatwalako; era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.
8 Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Kavuna wanaabanga emirembe n'amazima mu mirembe gyange.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]