Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Woowe, ensi ey'okukwakwaya kw'ebiwaawaatiro, eri emitala w'emigga gya Kuusi:
2 etuma ababaka ku nnyanja mu bibaya ku mazzi, ng'eyogera nti Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eggwanvu era eggweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu!
3 Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mulabanga; era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga.
4 Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu lw'omu biro eby'okukunguliramu.
5 Kubanga okukungula nga tekuznabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyeigera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema.
6 Galirekerwa wamu ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi n'ensolo ez'ensi: era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya, n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako nu ttoggo.
7 Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye ky'abantu abawanvu era abaweweeu, n'okuva eri abantu abaabanga b'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe migga gigisazeemu, eri ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye, olusozi Sayuuni.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]