Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Singa oyuzizza eggulu, singa osse ensozi ne zikulukuta lw'okujja kwo;
2 ng'omuliro bwe kukwata ebisaka, ng'omuliro bwe weseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo!
3 Bwe wakola by'entiisa bye tutasuubiranga, waka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja wo.
4 Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubateeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omumu oyo amulindirira.
5 Osisinkaa n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu maubo go: laba, wasunguwala naffe ne vonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?
6 Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ag'empewo.
7 So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso! go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.
8 Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.
9 Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu enaaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo.
11 Ennyumba yaffe entukuw ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye.
12 Olizibiikiriza ebyo aga bimaze okubaawo, ai Mukama olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini?

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]