1 Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala: kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.
2 Gaziya ekifo eky'eweema yo, era babambe amagigi g'ennyumba zo; tokwata mpola: wanvuya emigwa gyo, onyweze enkondo zo.
3 Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo.
4 Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi: so toswala; kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buto bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 Kuba.nga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye: era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; aliyitibwa Katonda wa nsi zonna.
6 Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwayo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, omukazi ow'omu buvubuka, bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo.
7 Akaseera akatono nkuleseewo; naye ndikukutlnaanya n'okusaasira kungi.
8 Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
9 Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
10 Kubanga ensozi ziri vaawo n'obusozi buliggibwawo; na ye ekisa kyange tekirikuyaako si n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira.
11 Ggwe abonyaabonyezebwa asuukundibwa n'omuyaga so tosa nyusibwa, laba, nditeeka amayinj go mu mabala amalungi, ne nsimb emisingi gyo ne safiro.
12 N'ebi tikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne ka bunkulo, n'ensalo yo yonna n'ama yinja agasanyusa.
13 N'abaana bi bonna baliyigirizibwa Mukama; n'e mirembe gy'abaana bo giriba mingi.
14 Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa: onoobanga wala n'o kujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.
15 Laba, mpozzi ba likuŋŋaana naye si nze ndibakuŋŋaanya: buli alikukuŋŋaanirako aligwa ku lulwo.
16 Laba, natonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era natonda n'omuzikiriza okufaafaaganya.
17 Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa oku lwana naawe ekiriraba omukisa; en buli lulimi olulikugolokokerako oku woza naawe olirusinga. Obwo bwi busika obw'abaddu ba Mukama n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama.