Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Isaaya Isaiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66
1 Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye.
2 Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.
3 n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n'okutuusa ku nvi naabasitula'nga: nze nakola era nze naaweekainga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga.
4 n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n'okutuusa ku nvi naabasitula'nga: nze nakola era nze naaweekainga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga.
5 Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane?
6 Abaggya ezaabu nnyingi mi nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza.
7 Bamukongojja ku kibegabega, bamu. situla ne bamusimba mu kifo kyo n'ayimirira; mu kifo kye taliseguka. wo: weewaawa, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze.
8 Mujjukire ekyo, mwerage obusajja: mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi.
9 Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda: kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana;
10 alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna:
11 ayita ennyonyi ey'amaddu akuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, nayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n'okukola ndikikola.
12 Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu:
13 nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala n'obulokozi bwange tebulirwawo era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]