Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma.
2 Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
3 Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akieweelako, omukisa.
4 Ababi si bwe batyo; Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
5 Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango, Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.
6 Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu: Naye ekkubo ly'ababi liribula.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]