Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150

1 Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe;
3 N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiika obwa kkoao ne mu bwa ddyo:
4 Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.
5 Baalumibwa enjala n'enayonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mubo.
6 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikira kwabwe.
7 Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu.
8 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
9 Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa enayonta agijjuza ebirungi.
10 Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n’ennaku n'ekyuma;
11 Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu enayo:
12 Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.
13 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, Era abantu bonna boogero nti Amiina. Mumutendereze Mukama. N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
14 N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe.
15 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu.
16 Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'obyuma:
17 Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa.
18 Emmeeme yaabwe etamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa.
19 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
20 Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe.
21 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
22 Era bawengayo asaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba.
23 Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi;
24 Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba.
25 Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo.
26 Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku.
27 Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze.
28 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe.
29 Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka.
30 Ne balyoka basanyuka kubanga bawumniula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.
31 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu
32 Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde.
33 Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu;
34 Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo.
35 Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi.
36 Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu;
37 Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera.
38 Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera.
39 Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala.
40 Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo.
41 Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo.
42 Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo.
43 Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]