1 Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange: Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.
2 Naayasama akamwa kange mu lugero: Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda:
3 Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
4 Tetuubikisenga baana baabwe, Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama, N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola.
5 Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe:
6 Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa; Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe:
7 Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge:
8 So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Emirembe emikakanyavu, emijeemu; Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo, N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda.
9 Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego, Ne bakyuka ennytuna ku lunaku olw'olutalo.
10 Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
11 Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga.
12 Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
13 Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.
14 Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.
15 Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16 Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga.
17 Naye ne banyiikira nate okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
18 Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe.
19 Era naye baayogera obubi ku Katonda; Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu?
20 Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be?
21 Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri:
22 Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe.
23 Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;
24 N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu.
25 Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa.
26 N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.
27 Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja:
28 N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29 Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba.
30 Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31 Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo, Ne bubattamu abasinga obunene, Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32 Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate, Ne butakkiriza bya magero bye.
33 Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu, N'emyaka gyabwe mu kutya.
34 Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okununoonya: Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda.
35 Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
36 Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.
37 Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
38 Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna.
39 Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; Empewo eziyita ne zitadda nate.
40 Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41 Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
42 Tebajjukira mukono gwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
43 Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;
44 N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
45 N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza.
46 Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige.
47 N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira.
48 Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka.
49 Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.
50 Yakubira obusungu bwe ekkubo, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwa bwe eri olumbe;
51 N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu:
52 Naye n'aggyamu abantu be ya ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.
53 N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
54 N'abaleeta ku nsalo ey'awatu. kuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
55 Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
56 Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batakwata bye yategeeza;
57 Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaa bwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'o bulimba.
58 Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'e bifaananyi byabwe ebyole.
59 Katonda bwe yawulira bw'atyo n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri:
60 N'afuluka mu weema ey'omi Siiro, Eweema gye yali ateese mi bantu;
61 N'awaayo amaanyi ge mu bu sibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.
63 Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe:
64 Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
65 Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.
66 N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma: N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo.
67 Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu;
68 Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga:
71 Mu kugoberera eadiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
72 Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abalunnamyanga n'amagezi g'emikono gye: