1 Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka.
2 Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutuukirivu, N'abaavu bo egy'ensonga.
3 Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe, N'obusozi, mu butuukirivu.
4 Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu, Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu, Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
5 Banaakutyanga ng'enjuba ekyaliwo, Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna.
6 Alikka ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa: Ng'empandaggirize ezifukirira ensi.
7 Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.
8 Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, Era okuva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
9 Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; N'abalabe be balikomba enfuufu.
10 Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo: Bakabaka w’e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone.
11 Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge: Amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga: N'omwavu atalina mubeezi.
13 Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
14 Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n'ettima: N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge:
15 Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e banaamusabiranga Syeba: Era abantu bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde.
16 Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni: N'ab'ekibuga banaameranga ng'omuddo ogw'oku nsi.
17 Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonaa; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba: N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa.
18 Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, Akola eby'amagero yekka:
19 N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina.
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.