1 Ai Omusumba wa Isiraeri, wulira, Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo; Ggwe atuula wakati wa bakerubi, yakira ddala.
2 Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go, Ojje otulokole.
3 Otukyuse nate, ai Katonda; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
4 Ai Mukama Katonda ow'eggye, Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo?
5 Wabaliisa emmere ey'amaziga, Era wabawa amaziga amangi okunywa.
6 Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe: N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.
7 Otukyuse nate, ai Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tolirokoka.
8 Waggya omuzabbibu mu Misiri: Wagobamu amawanga, n'ogusimba.
9 Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10 Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emiwle gya Katonda.
11 Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibukn zaagwo okutuusa ku Mugga.
12 Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
13 Embizzi eva mu kibira egunyaga, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako.
14 Okyuke nate, tukwegayiridde, ai Katonda ow'eggye: Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo.
15 N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba, N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi.
16 Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala: Bazikirira amaaso go bwe gabanenya.
17 Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo, Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi.
18 Naffe tetulidda nnyuma okukuleka: Otuzuukize ggw e, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
19 Otukyuse, nate, ai Mukama Katonda ow'eggye; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.