Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Okumpi n'emigga egy'e Babulooni, Twatuulawo wansi, weewaawo, ne tukaaba amaziga: Bwe twajjukira Sayuuni.
2 miti egyali wakati mu kyo Ne tuwaaikako ennanga zaffe.
3 Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.
4 Tunaayimbanga tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gwerabirenga amagezi gaagwo.
6 Olulimi lwange lwegattenga n'ekibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange ekkulu.
7 Ojjukire, si Mukama, ku baana ba Edomu Olunaku olw'e Yerusaalemi; Abaayogera nti Kisuule, kisuule, Era n’emisingi gyakyo.
8 Ggwe omuwala ow'e Babulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe.
9 Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka ku jjinja.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]