1 Si ffe, ai Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go.
2 Kiki ekinaaba kiboogeza ab'amawanga Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano?
3 Naye Katonda waffe ali mu ggulu: Akoze bye yayagala byonna.
4 Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
5 Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
6 Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7 Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So tebyogeza bulago bwabyo.
8 Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
9 Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
10 Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
11 Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
12 Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13 Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu.
14 Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza Mmwe n'abaana bammwe.
15 Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi.
16 Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu.
17 Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;
18 Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.