1 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti Tugende mu nnyumba ya Mukama.
2 Ebigere byaffe biyimiridde Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi;
3 Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu:
4 Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama, Okuba obujulirwa eri Isiraeri, Okwebazanga erinnya lya Mukama.
5 Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango, Entebe ez'ennyumba ya Dawudi.
6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe: Baliraba omukisa abakwagala.
7 Emirembe gibeere mu bisenge byo, N'omukisa mu mayugo.
8 Ku lwa baganda bange ne bannange Naayogera kaakano nti Emarembe gibeere mu ggwe.
9 Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe Naagezangako okukukola obulungi.