Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?
2 Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika.
3 Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.
4 Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya.
5 Baakukoowoolanga ggwe,ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.
6 Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma.
7 Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti
8 Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira.
9 Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange.
10 Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.
11 Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba.
12 Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza.
13 Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.
14 Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange.
15 Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa.
16 Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi baataayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange.
17 Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso:
18 Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange:
19 Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira.
20 Wonya emmeeme yange eri, ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa:
21 Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu.
22 Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga.
23 Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe amwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
24 Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo analcuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.
25 Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.
26 Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.
27 Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go.
28 Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga.
29 Abagewu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.
30 Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.
31 Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa; nga ye abukola:

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]