Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu.
2 Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono kuseerera.
3 Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.
4 Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera.
5 Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala:
6 Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo.
7 Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8 Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu.
9 Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulili lwabwe lutambulatambula mu nsi.
10 Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.
11 Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?
12 Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.
13 Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona;
14 Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya.
15 Singa nayogera nti Ka ajogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo.
16 Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema;
17 Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.
18 Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira.
19 Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala.
20 Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21 Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfiunita;
22 Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go.
23 Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24 Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
25 Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.
26 Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
27 Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.
28 Naye kitungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]